Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Abaefeso 1 - BIBULIYA ENTUKUVU


Okulamusa

1 Pawulo, Omutume wa Yezu Kristu olw'okwagala kwa Katonda. Y'abatuukirivu bonna abakkiriza mu Kristu Yezu.

2 Eneema ebeere nammwe ko n'emirembe okuva ewa Katonda Kitaffe n'Omukama Yezu Kristu.


A. ENTEGEKA YA KATONDA EY'OKULOKOLA ABANTU Oluyimba olw'okwebaza emikisa gy'obulokofu

3 Katonda oyo era Kitaawe wa Mukama waffe Yezu Kristu atenderezebwe, eyatuwa mu Yezu Kristu buli mukisa ogw'omu ggulu ogwa Mwoyo.

4 Nga bwe yatweroboleza mu ye nga n'ensi tennabangibwawo, tubeere batuukirivu nga tetuliiko musango mu maaso ge.

5 Yatuteebeza mu kwagala kwe okwebonanyizibwa ng'abaana ng'ayita mu Yezu Kristu, nga bwe yateekateeka mu kwagala kwe,

6 aweese eneema ye ey'ekitiibwa ettendo, gye yatugemulira olw'ekisa mu Mwana we Omwagala.

7 Mu ye twanunulibwa mu musaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, okusinziira ku bungi bw'eneema ye,

8 gye yatuwa mu buyitirivu mu magezi gonna ne mu kumanya.

9 Kubanga yatuwa okumanya ekyama ky'okwagala kwe, nga kwe kusiima kwe, nga bwe yateesa atyo mu Kristu,

10 entegeka ey'okugoberera okutuusa ng'emirembe gyonna gituukiridde, byonna abigatte wamu mu Kristu, ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi.

11 Mu ye naffe mwe yatweroboleza ng'obusika, nga bwe yatuteebeza ng'aggya ku ntegeka ye, oyo atuukiriza byonna ng'agoberera enteesa y'okwagala kwe.

12 Ffe abaasookera ddala okusuubira mu Kristu, twayitirwa okutendanga ekitiibwa kye.

13 Mu ye nammwe mwawulira ekigambo ky'amazima, Evangili y'okulokoka kwammwe, ne mumukkiriza, ne mussibwako akabonero ka Mwoyo Mutuukirivu omusuubize,

14 nga gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa nga tubufunye, ekitiibwa kye kifune ettendo.


Essaala esaba okumanya obukulu bwa Kristu

15 Nange nno olw'okuwulira nga bwe mukkiriza Omukama Yezu n'engeri gye mwagalamu abatuukirivu bonna,

16 sisobola kulekera awo kwebaza ku lwammwe nga mbajjukira mu ssaala zange,

17 Katonda nnyini kitiibwa Kitaawe wa Mukama waffe Yezu Kristu, abawe omutima ogutegeera, ababikkulire mumumanye;

18 amulise amaaso g'omutima gwammwe, mutegeere essuubi lye yabayitira, n'obungi bw'ekitiibwa eky'obusika bwe bwe yawa abatuukirivu be,

19 n'obukulu bw'amaanyi ge amasukkirivu g'ayoleseza mu ffe abakkiriza, mu bikolwa by'obuyinza n'amaanyi ge,

20 bye yakola mu Kristu bwe yamuzuukiza mu bafu, n'amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo mu ggulu,

21 ng'asukkulumye okusinga obukungu bwonna, n'obuyinza, n'amaanyi, n'obufuzi, na buli linnya eryali lituumiddwa, si mu mulembe guno gwokka, naye ne mu gulijja;

22 byonna n'abissa wansi w'ebigere bye, yennyini n'amuwa okubeera omutwe gwa buli kintu ku lw'Ekleziya;

23 gwe mubiri gwe, obujjuvu bw'oyo ajjuza byonna mu byonna.

BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies