Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Abaebbulaniya 1 - BIBULIYA ENTUKUVU


I. OBUKULU BWA MWANA ERA KRISTU A. MWANA ASINGA EBY'OMU GGULU

1 Edda Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe emirundi mingi ate mu ngeri ezitali zimu ng'ayita mu balanzi;

2 ddaaki mu nsangi zino ez'oluvannyuma n'ayogera naffe mu Mwana gwe yawa okusikira byonna; mu oyo mwe yatondera ensi.

3 Ye kwe kutangalijja kw'ekitiibwa kya Katonda, ye nfaanana ye yennyini, awanirira obutonde bwonna n'amaanyi g'ekigambo kye. Bwe yamala abantu okubatukuzaako ebibi, n'atuula ku gwa ddyo gw'Oweekitiibwa ali waggulu,

4 ng'amaze okusukkulumizibwa n'okusinga bamalayika kyenkana ng'erinnya lye yasikira bwe libasukkiridde ekitiibwa.

5 Kale malayika ani Katonda gwe yali agambye nti: “Ggwe oli Mwana wange, olwa leero nkuzadde”? Oba era nti: “Ndibeera Kitaawe, naye alibeera mwana wange”?

6 Ate era bw'aba ayingiza Omwana we omuggulanda mu nsi, agamba nti: “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinze.”

7 Ku bamalayika agamba nti: “Oyo afuula bamalayika be empewo, n'abaweereza be abafuula ennimi z'omuliro.”

8 Sso ku Mwana, agamba nti: “Nnamulondo yo, ayi Katonda, ya mirembe na mirembe; ddamula w'obwakabaka bwo ddamula wa butuukirivu.

9 Wayagala obutuukirivu n'okyawa obugwenyufu. Katonda nno, Katonda wo, kyavudde akusiiga omuzigo, omuzigo ogw'essanyu okusinga ne banywanyi bo.”

10 Ate nti: “Ayi Mukama, mu kusookera ddala wabangawo ensi, n'eggulu mulimu gwa mikono gyo.

11 Ebyo birizikirira, naye ggwe osigalawo;

12 birikaddiwa ng'olugoye, olibizingako ng'omunagiro, birikyuka ng'ekyambalo, naye ggwe osigala ggwe omu, n'emyaka gyo tegiriiko kkomo.”

13 Naye malayika ani gwe yali agambye nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa abalabe bo lwe ndibafuula akatebe k'ebigere byo”?

14 Gyonna egyo si myoyo egikola ogw'obuweereza egy'atumibwa olw'abo ab'okusikira obulokofu?

BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies