Et 9:9 - Luganda DC Bible 20039 Bwe nayambuka ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja ebyawandiikibwako endagaano Mukama gye yakola nammwe, nasigalayo emisana n'ekiro okumala ennaku amakumi ana nga sirya mmere, wadde okunywa amazzi. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI9 Bwe nnalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja eby'endagaano Mukama gye yalagaana nammwe, n'amalayo ennaku ana (40) emisana n'ekiro nga ssirya mmere so nga ssinywa mazzi. Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya9 Bwe nalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby’amayinja, nga bye byaliko endagaano Mukama Katonda gye yali alagaanye nammwe, ne mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, saalya ku mmere wadde okunywa ku mazzi. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya9 Bwe nnali nga mmaze okulinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano Mukama gye yalagaana nammwe, ne ndyoka mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU9 luli lwe nayambuka olusozi nfuneyo empande z'amayinja, empande ez'endagaano Omukama gye yakola nammwe, ne nsigala eyo mu lusozi ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana, nga sirya mugaati, wadde okunywa amazzi. Sien die hoofstukLuganda Bible 20039 Bwe nayambuka ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja ebyawandiikibwako endagaano Mukama gye yakola nammwe, nasigalayo emisana n'ekiro okumala ennaku amakumi ana nga sirya mmere, wadde okunywa amazzi. Sien die hoofstuk |