Et 9:3 - Luganda DC Bible 20033 Kale mumanye nti Katonda wammwe ye anaabakulemberamu mmwe, ng'ali ng'omuliro ogwokya buli kimu. Ye yennyini ajja kuwangula abantu abo, nga mmwe mutuuka, bwe mutyo mulyoke mubagobemu era mubazikirize mangu, nga Mukama bwe yabagamba mmwe. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI3 Kale mumanye leero nga Mukama Katonda wammwe ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya buli kintu; alibazikiriza, era alibamegga mu maaso gammwe; bwe mutyo bwe mulibagobamu, ne mubazikiriza mangu, nga Mukama bwe yabagamba Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya3 Naye kitegeere leero nga Mukama Katonda wo y’akukulembera buli gy’oba olaga yonna, era ng’ali ng’omuliro ogusaanyaawo buli kintu. Ab’amaanyi abo agenda kubasiguukulula abazikirize nga naawe olaba. Noolwekyo ogenda kubagobamu obamalirewo ddala mu kaseera katono, nga Mukama bw’akusuubizza. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya3 Kale manya leero nga Mukama Katonda wo ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya; ye alibazikiriza, era alibamegga mu maaso go: bw'otyo bw'olibagobamu, n'obazikiriza mangu, nga Mukama bwe yakugamba. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU3 Kino kitegeere olwa leero nti Omukama Katonda wo akukulemberamu mu kusomoka, muliro ogugenda gusenkenya. Ajja kubamerengula, abafufuggaze mu maaso go, olyoke obagobe mangu obasaanyeewo, nga bwe yakugamba. Sien die hoofstukLuganda Bible 20033 Kale mumanye nti Katonda wammwe ye anaabakulemberamu mmwe, ng'ali ng'omuliro ogwokya buli kimu. Ye yennyini ajja kuwangula abantu abo, nga mmwe mutuuka, bwe mutyo mulyoke mubagobemu era mubazikirize mangu, nga Mukama bwe yabagamba mmwe. Sien die hoofstuk |