Yuda 1:7 - Luganda Bible 20037 Era mu ngeri ye emu, ab'omu Sodoma ne Gomora, n'ebibuga ebirala ebyali biriraanyeewo, abaayenda, ne bakola ebitali bya buwangwa, baaweebwa ekibonerezo eky'omuliro ogutazikira, ne baba ekyokulabirako. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI7 Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyali bibiriraanye, nabyo bwe byayendera ddala okwenkana nabo ne bikolanga eby'okwegomba okw'obuwemu, byafuuka kyakulabirako nga bibonerezebwa mu muliro ogutaggwaawo. Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya7 Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi n’obwenzi, nga n’abasajja bakolaganako eby’ensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa n’omuliro, era byabonerezebwa n’omuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya7 Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo, bwe byayendera ddala okwenkana nabo ne bikyama okugobereranga omubiri omulala, byateekebwawo okuba ekyokulabirako, nga bibonerezebwa n'omusango ogw'omuliro ogutaggwaawo. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU7 Mu ngeri ye emu Sodoma ne Gomorra n'ebibuga ebyali byetooloddewo, nabyo ebyessa mu bugwagwa ne mu bukaba obutali bwa butonde, bituweereddwa ng'ekyokulabirako eky'abo abali ku kibonerezo eky'omu muliro ogw'emirembe gyonna. Sien die hoofstukLuganda DC Bible 20037 Era mu ngeri ye emu, ab'omu Sodoma ne Gomora, n'ebibuga ebirala ebyali biriraanyeewo, abaayenda, ne bakola ebitali bya buwangwa, baaweebwa ekibonerezo eky'omuliro ogutazikira, ne baba ekyokulabirako. Sien die hoofstuk |