Yuda 1:25 - Luganda Bible 200325 oyo Katonda omu yekka, atulokola ng'ayita mu Yesu Kristo Mukama waffe, abe n'ekitiibwa, n'obukulu, n'obufuzi, n'obuyinza okuva edda n'edda, ne kaakano, n'emirembe gyonna. Amiina. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI25 Katonda omu yekka Omulokozi waffe, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaanyi n'obuyinza, okuva mu mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu emirembe egitaliggwaawo. Amiina. Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya25 Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olw’amaanyi ge n’obuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya25 Katonda omu yekka Omulokozi waffe, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaanyi n'obuyinza, edda n'edda ng'emirembe n'emirembe teginnabaawo, kaakano era n'emirembe egitaliggwaawo. Amiina. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU25 eri Katonda yekka omulokozi waffe, mu Yezu Kristu Mukama waffe, ebeere ekitiibwa n'obukulu, n'okufuga, n'obuyinza emirembe gyonna nga teginnabaawo, na kaakano, na bulijjo. Amiina. Sien die hoofstukLuganda DC Bible 200325 oyo Katonda omu yekka, atulokola ng'ayita mu Yesu Kristo Mukama waffe, abe n'ekitiibwa, n'obukulu, n'obufuzi, n'obuyinza okuva edda n'edda, ne kaakano, n'emirembe gyonna. Amiina. Sien die hoofstuk |