Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Malaki 1:6 - Luganda Bible 2003

6 Mukama Nnannyinimagye agamba bakabona nti: “Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n'omuweereza assaamu mukama we ekitiibwa. Kale oba nga ndi kitammwe, lwaki temunzisaamu kitiibwa? Era oba nga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya? Munnyooma, naye ne mubuuza nti: ‘Tukunyoomye tutya?’

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

6 “Omwana assaamu ekitiibwa kitaawe, n'omuddu mukama we, kale oba nga ndi kitammwe, ekitiibwa kyange kiri ludda wa?” Era oba nga ndi mukama, okutiibwa kwange kuli ludda wa? Mukama w'eggye bw'agamba mmwe, Ayi mmwe bakabona abanyooma erinnya lyange. Era mwogera nti, “Twali tunyoomye tutya erinnya lyo?

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

6 “Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n’omuddu atya mukama we. Kale obanga ddala ndi kitammwe, ekitiibwa kye munzisaamu kiri ludda wa? Era obanga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Mukama ow’Eggye bw’abagamba mmwe nti, “Mmwe bakabona munyooma erinnya lyange. “Ne mubuuza nti, ‘Twayonoona tutya?’

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

6 Omwana assaamu ekitiibwa kitaawe, n'omuddu mukama we: kale oba nga ndi kitammwe, ekitiibwa kyange kiri ludda wa? era oba nga ndi mukama wammwe, okutiibwa kwange kuli ludda wa? Mukama w'eggye bw'agamba mmwe, Ai bakabona abanyooma erinnya lyange, Era mwogera nti Twali tunyoomye tutya erinnya lyo?

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

6 “Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n'omuweereza akissaamu mukama we. Oba nze kitammwe, ekitiibwa kyange kiruwa? Oba ndi mukama, obukulu bwange buluwa? Omukama w'Amagye y'agamba. Mmwe bakabona mmwe munyooma erinnya lyange. Naye mubuuza nti: ‘Erinnya lyo tulinyoomye tutya?’

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

6 Mukama Nnannyinimagye agamba bakabona nti: “Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n'omuweereza assaamu mukama we ekitiibwa. Kale oba nga ndi kitammwe, lwaki temunzisaamu kitiibwa? Era oba nga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya? Munnyooma, naye ne mubuuza nti: ‘Tukunyoomye tutya?’

Sien die hoofstuk Kopieer




Malaki 1:6

Volg ons:

Advertensies


Advertensies