Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Luusi 4:1 - Luganda Bible 2003

1 Awo Bowaazi n'ayambuka mu kifo awakuŋŋaanirwa ku mulyango gw'ekibuga, n'atuula awo. Olwo owooluganda lwa Elimeleki asinga okuba ow'okumpi, Bowaazi gwe yali ayogeddeko, n'ayitawo. Bowaazi n'amuyita nti: “Owange, kyama, otuuleko wano.” Oli n'akyama, n'atuula.

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

1 Awo Bowaazi n'agenda awali omulyango gw'ekibuga awakuŋŋaanirwa n'atuula awo; laba muganda wa Erimereki Bowaazi gwe yayogerako nga yamusinga okuba ow'okumpi n'ayitawo; Bowaazi n'amugamba nti, “Owange, muganda wange! kyama otuule wano.” N'akyama n'atuula.

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

1 Awo Bowaazi n’ayambuka ku wankaaki w’ekibuga n’atuula awo. Mu kiseera kye kimu, muganda we oli gwe yayogerako ngali ne Luusi, yali ayitawo. Bowaazi n’amuyita namugamba nti, “Jjangu otuuleko wano munnange.” Naye n’akkiriza, n’agenda n’atuula we yali.

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

1 Awo Bowaazi n'ayambuka eri omulyango, n'atuula eyo: era, laba, muganda we oyo Bowaazi gw'ayogeddeko n'ayitawo; n'amugamba oyo nti Owange, gundi! kyama otuule wano. N'akyama n'atuula.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

1 Awo Bowazi n'ayambuka ku mulyango gw'ekibuga, n'atuula awo. Aba akyali awo ow'oluganda omu eyalina obuvunaanyizibwa obw'okununula n'atuuka, n'amugamba nti: “Kyamako otuule wano;” n'akyama, n'atuula.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

1 Awo Bowaazi n'ayambuka mu kifo awakuŋŋaanirwa ku mulyango gw'ekibuga, n'atuula awo. Olwo owooluganda lwa Elimeleki asinga okuba ow'okumpi, Bowaazi gwe yali ayogeddeko, n'ayitawo. Bowaazi n'amuyita nti: “Owange, kyama, otuuleko wano.” Oli n'akyama, n'atuula.

Sien die hoofstuk Kopieer




Luusi 4:1

Volg ons:

Advertensies


Advertensies