Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Luusi 3:13 - Luganda Bible 2003

13 Sula wano ekiro kino. Bwe bunaakya enkya, tujja kulaba oba ng'anaakulabirira, oba nga taakulabirire. Bw'aba ng'anaakulabirira, kirungi. Bw'aba nga taakulabirire, ndayira Katonda omulamu nti nze neetegese okukulabirira. Kaakati sigala wano weebake okutuusa obudde okukya.”

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

13 Beera wano ekiro kino, bwe bunaakya enkya, tujja kulaba oba ow'oluganda anaakukolera emirimu gy'oluganda; naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, nze ndigikukolera, nga Mukama bw'ali omulamu, weebake obudde bukye.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

13 Beera wano okutuusa obudde lwe bunaakya. Kale bw’anaayagala okukutwala, kinaaba kirungi; naye bw’anaaba nga tasiimye, Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, nnaakutwala.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

13 Beera wano ekiro kino, awo olunaatuuka enkya bw'anaakukolera emirimu egy'oluganda, kale; akole emirimu egy'oluganda: naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, kale nze ndikukolera emirimu egy'oluganda, nga Mukama bw'ali omulamu: galamira okeese obudde.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

13 Sigala ekiro kino; nga bukedde, bw'anaayagala okukununula, kale anaakununula; bw'anaaba tayagadde, Mazima Omukama nga mulamu, tewali kubuusabuusa, nze nnaakununula. Weebake okutuusa enkya.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

13 Sula wano ekiro kino. Bwe bunaakya enkya, tujja kulaba oba ng'anaakulabirira, oba nga taakulabirire. Bw'aba ng'anaakulabirira, kirungi. Bw'aba nga taakulabirire, ndayira Katonda omulamu nti nze neetegese okukulabirira. Kaakati sigala wano weebake okutuusa obudde okukya.”

Sien die hoofstuk Kopieer




Luusi 3:13

Volg ons:

Advertensies


Advertensies