Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Et 7:24 - Luganda Bible 2003

24 Aliwaayo bakabaka baabwe mu mikono gyammwe. Mulibazikiriza, ne beerabirwa ku nsi. Tewaliba muntu n'omu ayinza kubaziyiza mmwe. Mulibasaanyaawo.

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

24 Era bakabaka baabwe anaabawangayo mu mukono gwo, n'obazikiriza ne beerabirwa mu nsi. Tewaabenga muntu anaayinzanga kukuziyiza kubazikiriza.

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

24 Anaagabulanga bakabaka baago mu mukono gwo n’osangulira ddala amannya gaabwe okuva wansi w’eggulu. Tewaabengawo muntu n’omu anaayimiriranga mu maaso go okukwaŋŋanga, ojjanga kubazikiriza.

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

24 Era anaagabulanga bakabaka baabwe mu mukono gwo, era onoozikirizanga erinnya lyabwe okuva wansi w'eggulu: tewaabenga muntu anaayinzanga okuyimirira mu maaso go, okutuusa lw'olibazikiriza.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

24 Bakabaka baabwe agenda kubakuwa mu mikono gyo, amannya gaabwe ogasangulewo wansi w'eggulu; tewaliba n'omu asobola kukuziyiza; olibasanyaawo.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

24 Aliwaayo bakabaka baabwe mu mikono gyammwe. Mulibazikiriza, ne beerabirwa ku nsi. Tewaliba muntu n'omu ayinza kubaziyiza mmwe. Mulibasaanyaawo.

Sien die hoofstuk Kopieer




Et 7:24

Volg ons:

Advertensies


Advertensies