Et 4:6 - Luganda Bible 20036 Mubikuumenga era mubituukirizenga, kubanga ekyo kye kinaalaganga abantu ab'amawanga amalala, bwe mulina amagezi n'okutegeera. Bwe banaawuliranga amateeka ago gonna, banaagambanga nti: ‘Ddala eggwanga lino ekkulu, lya bantu abagezi era abategeevu.’ Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI6 Kale mubyekuumenga, mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n'okutegeera kwammwe eri amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti, ‘Mazima eggwanga lino kkulu, be bantu ab'amagezi era abategeera.’ Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya6 Mugagobererenga n’obwegendereza, kubanga ekyo kiriraga ensi endala obugezi bwammwe n’obutegeevu bwammwe. Ensi ezo bwe ziriwulira ku mateeka gano gonna zirigamba nti, “Ddala abantu b’eggwanga lino ekkulu bategeevu era ba magezi.” Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya6 Kale mubyekuumenga mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n'okutegeera kwammwe mu maaso g'amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti Mazima eggwanga lino ekkulu be bantu ab'amagezi era abategeera. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU6 Mubikwatanga butiribiri era mubituusanga. Olwo lwe muliraga mu maaso g'amawanga amagezi gammwe n'okutegeera kwammwe. Bwe baliwulira amateeka ago gonna, balyewuunya nti: ‘Mulabe eggwanga ettutumufu lino, eggezi era eggwanga eritegeera!’ Sien die hoofstukLuganda DC Bible 20036 Mubikuumenga era mubituukirizenga, kubanga ekyo kye kinaalaganga abantu ab'amawanga amalala, bwe mulina amagezi n'okutegeera. Bwe banaawuliranga amateeka ago gonna, banaagambanga nti: ‘Ddala eggwanga lino ekkulu, lya bantu abagezi era abategeevu.’ Sien die hoofstuk |