Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Et 4:34 - Luganda Bible 2003

34 Oba waliwo lubaale eyali agezezzaako okugenda okwetwalira abantu b'eggwanga erimu ng'abaggya wakati mu ggwanga eddala, ng'akozesa ebigezo, n'ebyewuunyo n'ebyamagero, n'olutalo, n'obuyinza obungi n'amaanyi, n'eby'entiisa ennene, nga Mukama Katonda wammwe bwe yakolera mmwe e Misiri nga mulaba?

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

34 Waliwo Katonda yenna eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga ng'aliggya wakati mu ggwanga eddala ng'akozesa obubonero, eby'amagero, entalo, n'engalo ez'amaanyi, n'omukono ogwagololwa, n'eby'entiisa ebikulu, nga byonna bwe byali Mukama Katonda wammwe bye yabakolera e Misiri nga mulaba?

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

34 Nantiki, waali wabaddewo katonda eyali agezezzaako okwetwalira eggwanga erimu ng’aliggya wakati mu ggwanga eddala, ng’ataddewo ebigezo, n’okukola ebyamagero, n’obubonero, n’ebyewuunyo, n’entalo, ng’alaga omukono gwe ogw’amaanyi, n’omukono gwe omuwanvu; oba n’ebikolwa ebinene ebitiisa, okufaanana ng’ebintu Mukama Katonda wammwe bye yabakolera nga muli mu Misiri, nga mwenna mutunula?

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

34 Oba Katonda yali agezezzaako okugenda okwetwalira eggwanga ng'aliggya wakati mu ggwanga linnaalyo, n'okukema n'obubonero n'eby'amagero n'entalo n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'eby'entiisa ebikulu, nga byonna bwe byali Mukama Katonda wammwe bye yabakolera mu Misiri mu maaso gammwe?

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

34 Oba waali wabaddewo lubaale agenda ne yeggyirayo eggwanga okuva mu ggwanga eddala nga yeeyamba ebigezo, n'obubonero, n'ebikuuno, n'entalo, n'omukono ogw'amaanyi, n'omukono omugolole, n'ebikolwa eby'entiisa, ng'ebyo Omukama Katonda wammwe bye yakola mu Misiri nga naawe olaba?

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

34 Oba waliwo lubaale eyali agezezzaako okugenda okwetwalira abantu b'eggwanga erimu ng'abaggya wakati mu ggwanga eddala, ng'akozesa ebigezo, n'ebyewuunyo n'ebyamagero, n'olutalo, n'obuyinza obungi n'amaanyi, n'eby'entiisa ennene, nga Mukama Katonda wammwe bwe yakolera mmwe e Misiri nga mulaba?

Sien die hoofstuk Kopieer




Et 4:34

Volg ons:

Advertensies


Advertensies