Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Et 3:28 - Luganda Bible 2003

28 Naye kuutira Yoswa era omugumye, abe mumalirivu, kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano okwefuga ensi eyo gy'ogenda okulengera.’

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

28 Naye kuutira Yoswa omugumye, omuwe amaanyi kubanga ye alikulembera abantu bano okusomoka era ye, ye alibagabira ensi gy'onoolaba.’ ”

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

28 Naye obuyinza bukwase Yoswa, omukuutire era omugumye afune amaanyi, kubanga y’agenda okukulembera abantu bano nga basomoka, era ye alibasobozesa okulya ensi eyo gy’ojja okulaba, okubeera obutaka bwabwe.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

28 Naye kuutira Yoswa omugumye omuwe amaanyi: kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano, era ye alibasisa ensi gy'oliraba.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

28 Tongoza Yoswa, mukalangule, omugumye, kubanga y'anaasomosa eggwanga lino, era y'alibagabira ensi gy'onoolaba.’

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

28 Naye kuutira Yoswa era omugumye, abe mumalirivu, kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano okwefuga ensi eyo gy'ogenda okulengera.’

Sien die hoofstuk Kopieer




Et 3:28

Volg ons:

Advertensies


Advertensies