Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Et 3:20 - Luganda Bible 2003

20 Muyambe baganda bammwe, okutuusa lwe balyefuga ensi, Mukama gy'abawa emitala wa Yorudaani, era okutuusa nabo Mukama lw'alibawa okutebenkera nga mmwe. Olwo mulikomawo, ne mudda, buli muntu ku butaka bwe, bwe nabawa.’

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

20 Muyambe baganda bammwe okutuusa lwe baliwangula ne bakkalira mu nsi Mukama gy'abawa emitala wa Yoludaani, olwo nammwe ne mulyoka mudda mu butaka bwammwe bwe nnabawa. ’ ”

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

20 okutuusa nga baganda bammwe bamaze okwetwalira ensi eri emitala w’omugga Yoludaani, Mukama Katonda wammwe gy’abawa; Mukama alyoke awe baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bwe yakibawa. Oluvannyuma mulikomawo mu butaka bwammwe bwe nabagabira.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

20 okutuusa Mukama lw'aliwa baganda bammwe okuwummula, nga nammwe, era nabo nga balidde ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa emitala wa Yoludaani: ne mulyoka mudda buli muntu mu butaka bwe bwe nnabawa.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

20 okutuusa Omukama lw'aliwa baganda bammwe ekiwummulo nga bw'akiwadde mmwe, nabo ne bafuna ensi Omukama Katonda wammwe gy'alibawa emitala wa Yorudani; olwo buli omu aliddayo mu kitundu kye kye namuwa.’

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

20 Muyambe baganda bammwe, okutuusa lwe balyefuga ensi, Mukama gy'abawa emitala wa Yorudaani, era okutuusa nabo Mukama lw'alibawa okutebenkera nga mmwe. Olwo mulikomawo, ne mudda, buli muntu ku butaka bwe, bwe nabawa.’

Sien die hoofstuk Kopieer




Et 3:20

Volg ons:

Advertensies


Advertensies