Et 3:17 - Luganda Bible 200317 Ku ludda olw'ebugwanjuba, ekitundu kyabwe ne kituuka ku Mugga Yorudaani, okuva ku Nnyanja y'e Galilaaya mu bukiikakkono, okukkira ddala ku Nnyanja y'Omunnyo mu bukiikaddyo, n'okutuuka ku bigere by'Olusozi Pisuga ku ludda olw'ebuvanjuba. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI17 Ku ludda olw'ebugwanjuba, ekitundu kyabwe ne kituuka ku mugga Yoludaani, okuva ku nnyanja Kinneresi mu bukiikakkono, okutuuka ku Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, n'okutuukira ddala wansi w'olusozi Pisuga ku ludda olw'ebuvanjuba.” Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya17 Omugga Yoludaani nga ye nsalo ey’ebugwanjuba mu Alaba, okuviira ddala ku Kinneresi okutuuka ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga ku luuyi olw’ebuvanjuba. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya17 era ne Alaba ne Yoludaani n'ensalo yaagwo; okuva ku Kinneresi okutuusa ku nnyanja ya Alaba, Ennyanja Ey'omunnyo, awali entunnumba za Pisuga ku luuyi olw'ebuvanjuba. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU17 Ensalo zaabwe okudda ebuvanjuba nga gwe mugga Yorudani okuviira ddala ku Kinnereti n'okukkira ddala okutuuka ku nnyanja ya Araba, Ennyanja y'Omunnyo, ne wansi w'enkonko za Pisuga. Sien die hoofstukLuganda DC Bible 200317 Ku ludda olw'ebugwanjuba, ekitundu kyabwe ne kituuka ku Mugga Yorudaani, okuva ku Nnyanja y'e Galilaaya mu bukiikakkono, okukkira ddala ku Nnyanja y'Omunnyo mu bukiikaddyo, n'okutuuka ku bigere by'Olusozi Pisuga ku ludda olw'ebuvanjuba. Sien die hoofstuk |