Et 17:15 - Luganda Bible 200315 Mumalanga kukakasa nti muteekawo oyo Mukama gw'aliba yeerobozezza. Mussangawo omu ku b'eggwanga lyammwe okuba kabaka wammwe. Temugezanga ne mweteerawo omugwira, atali wa ggwanga lyammwe okubafuga. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI15 mussangawo omu ku baganda bammwe, Mukama gw'alyeroboza okuba kabaka okubafuga; si kirungi mmwe okussaawo mu nnaggwanga okubafuga. Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya15 Weegenderezanga n’ossaawo kabaka oyo Mukama Katonda wo gw’anaakulonderanga. Kikugwanira okumuggyanga mu bantu bo bennyini. Tokkirizibwenga kwessizangawo kabaka omunnaggwanga anaabanga tavudde mu baganda bo bennyini, okukufuganga. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya15 tolemanga kussaawo oyo okuba kabaka okukufuga, Mukama Katonda wo gw'alyeroboza: omu ku baganda bo gw'olissaawo okuba kabaka okukufuga: si kirungi ggwe okussaawo munnaggwanga okukufuga, atali muganda wo. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU15 wekkaanye, oyo yekka Omukama Katonda wo gw'aliba akulondedde ng'amuggya mu baganda bo, gw'ofuulanga kabaka. Togezanga n'olonda omugwira, atali muganda wo, okuba kabaka wo. Sien die hoofstukLuganda DC Bible 200315 Mumalanga kukakasa nti muteekawo oyo Mukama gw'aliba yeerobozezza. Mussangawo omu ku b'eggwanga lyammwe okuba kabaka wammwe. Temugezanga ne mweteerawo omugwira, atali wa ggwanga lyammwe okubafuga. Sien die hoofstuk |