Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Et 17:12 - Luganda Bible 2003

12 Omuntu anaakolanga emputtu n'atawulira kabona ali eyo mu luwalo lw'okuweereza mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, oba anaajeemeranga omulamuzi, anattibwanga, bwe mutyo ne muggyawo ekibi mu Yisirayeli.

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

12 Omuntu yenna anaajeemeranga ensala ya Kabona aweereza mu Maaso ga Mukama, oba omulamuzi, omuntu oyo anaafanga. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi mu Isiraeri.

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

12 Omuntu yenna anaanyoomanga omulamuzi oba kabona eyateekebwawo okuweereza Mukama Katonda wo, omuntu oyo wa kufa. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi mu Isirayiri.

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

12 Era omuntu anaakolanga eby'ekyejo, nga tawulira kabona ayimirira eyo okuweerereza mu maaso ga Mukama Katonda wo, oba mulamuzi, omuntu oyo anaafanga: era onoggyangawo obubi obwo mu Isiraeri.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

12 Bwe wabangawo eyeekuluntaza n'anyooma omulamuzi oba kabona aweereza Omukama Katonda wo mu budde obwo, omuntu oyo attibwanga buttibwa. Ekibi kino kirina okuggyibwawo mu Yisirayeli.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

12 Omuntu anaakolanga emputtu n'atawulira kabona ali eyo mu luwalo lw'okuweereza mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, oba anaajeemeranga omulamuzi, anattibwanga, bwe mutyo ne muggyawo ekibi mu Yisirayeli.

Sien die hoofstuk Kopieer




Et 17:12

Volg ons:

Advertensies


Advertensies