Et 16:3 - Luganda Bible 20033 Temuukiriirengako migaati gizimbulukusiddwa. Munaamalanga ennaku musanvu nga mukiriirako migaati egitazimbulukusiddwa, nga bwe mwakola nga muva mu nsi y'e Misiri mu bwangu. Egyo gye migaati egy'okunakuwala. Munaagiryanga mulyoke mujjukire mu bulamu bwammwe bwonna olunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI3 Ku mbaga eno temulyanga mmere nzimbulukuse okumala ennaku musanvu, naye munaalyanga emmere eteri nzimbulukuse, y'emmere ey'okunakuwala, kubanga mwava mu nsi y'e Misiri nga mwanguyirira. Munajjukiranga olunaku lwe mwaviiramu mu nsi ey'e Misiri ennaku zonna ez'obulamu bwammwe. Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya3 Tokiryanga na mugaati omuzimbulukuse. Onoomalanga ennaku musanvu ng’emigaati gy’olya si mizimbulukuse, gye migaati egy’okulaba ennaku, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu, bw’otyo olyokenga ojjukirenga, mu nnaku zonna ez’obulamu bwo, olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya3 Tolyanga mmere nzimbulukuse wamu nakwo; onoomalanga ennaku musanvu ng'olya emmere eteri nzimbulukuse wamu nakwo, ye mmere ey'okunakuwala; kubanga wava mu nsi y'e Misiri ng'oyanguwa: ojjukirenga olunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri ennaku zonna ez'obulamu bwo. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU3 Toliirangako mugaati guzimbulukuse; okumala ennaku musanvu onoolyanga migaati egitazimbulukuse, omugaati gw'okubonaabona, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu. Bw'otyo, ennaku zonna ez'obulamu bwo, ojjukirenga olunaku lwe wava mu Misiri. Sien die hoofstukLuganda DC Bible 20033 Temuukiriirengako migaati gizimbulukusiddwa. Munaamalanga ennaku musanvu nga mukiriirako migaati egitazimbulukusiddwa, nga bwe mwakola nga muva mu nsi y'e Misiri mu bwangu. Egyo gye migaati egy'okunakuwala. Munaagiryanga mulyoke mujjukire mu bulamu bwammwe bwonna olunaku lwe mwaviirako mu nsi y'e Misiri. Sien die hoofstuk |