Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Et 16:15 - Luganda Bible 2003

15 Munassangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa nga mukola Embaga eno okumala ennaku musanvu, mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu bye munaakungulanga byonna, ne mu bye munaakolanga byonna, ne mujjula essanyu.

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

15 Okumala ennaku musanvu, muneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wammwe mu kifo Mukama ky'alyeroboza, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu bibala byammwe byonna ne mu mirimu gyammwe gyonna, era munaabanga n'essanyu jjereere.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

15 Onoomalanga ennaku musanvu ng’ojaguza ku Mbaga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky’aneeronderanga. Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byonna eby’amakungula go, ne mu mirimu gyo gyonna gy’onootuusangako engalo zo, essanyu lyo bwe lityo linaabanga lijjuvu.

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

15 Ennaku musanvu oneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky'alyeroboza: kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byo byonna, ne mu mulimu gwonna ogw'engalo zo, era onoobanga n'essanyu jjereere.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

15 Omalanga ennaku musanvu ng'okuliza Omukama Katonda wo embaga eno mu kifo Omukama ky'aliba alonze, kubanga Omukama Katonda wo alikuwa omukisa mu bibala byo byonna ne mu mirimu gyonna egy'emikono gyo; oliba mu ssanyu jjereere.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

15 Munassangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa nga mukola Embaga eno okumala ennaku musanvu, mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu bye munaakungulanga byonna, ne mu bye munaakolanga byonna, ne mujjula essanyu.

Sien die hoofstuk Kopieer




Et 16:15

Volg ons:

Advertensies


Advertensies