Et 16:11 - Luganda Bible 200311 Era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Munaasanyukanga nga muli wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi ab'omu bibuga byammwe, n'abagwira, ne bamulekwa ne bannamwandu ababeera mu mmwe. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI11 Era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abali mu bibuga byammwe ne bannamawanga ne bamulekwa ne bannamwandu abali wakati wammwe, mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye. Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya11 Onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde okubeerangamu Erinnya lye. Onoosanyukanga ne batabani bo, ne bawala bo, n’abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, n’Omuleevi anaabeeranga mu bibuga byo, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abanaabeeranga mu mmwe. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya11 era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'omuzaana wo n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo ne munnaggwanga ne mulekwa ne namwandu, abali wakati wo, mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU11 Osanyukiranga mu maaso g'Omukama Katonda wo, ggwe, mutabani wo, muwala wo, omuddu wo, omuzaana wo, n'Omuleevi ali mu bibuga byo, omugwira, enfuuzi, ne nnamwandu abali ewuwo, mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye. Sien die hoofstukLuganda DC Bible 200311 Era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Munaasanyukanga nga muli wamu ne batabani bammwe ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe, n'Abaleevi ab'omu bibuga byammwe, n'abagwira, ne bamulekwa ne bannamwandu ababeera mu mmwe. Sien die hoofstuk |