Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Et 15:2 - Luganda Bible 2003

2 Eno ye ngeri gye munaakikolangamu: buli anaabanga alina munne gw'abanja, anaamusonyiwanga kye yamuwola. Taakibanjenga munne oyo era muganda we, kubanga Mukama yennyini ye anaabanga alangiridde ekisonyiwo.

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

2 Era eno ye ngeri ey'okusonyiwa okwo: buli abanja, anaasonyiwanga ekyo kye yawola muliraanwa we; taakibanjenga muliraanwa we oba muganda we, kubanga Mukama y'alangiridde okusonyiwa okwo;

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

2 Okusonyiwa okwo kunaabeeranga bwe kuti: buli muntu eyawola munne ebbanja, anaasazangamu ebbanja eryo lye yamuwola. Temubanjanga Bayisirayiri bannammwe, kubanga ebiro Mukama by’anaabanga ataddewo eby’okusonyiwagana amabanja binaabanga bimaze okulangirirwa.

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

2 Era eno ye ngeri y'okusumulula okwo: buli abanja anaasumululanga ekyo kye yawola muliraanwa we; takibanjanga muliraanwa we era muganda we; kubanga okusumulula kwa Mukama nga kulangiddwa.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

2 Onookikolanga bw'oti: eyawola munne ajja kumusonyiwanga ky'amubanja; eky'okusaba munne oba muganda we amusasule ajja kukirekanga, kubanga Omukama alangiridde ekisonyiwo ky'amabanja.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

2 Eno ye ngeri gye munaakikolangamu: buli anaabanga alina munne gw'abanja, anaamusonyiwanga kye yamuwola. Taakibanjenga munne oyo era muganda we, kubanga Mukama yennyini ye anaabanga alangiridde ekisonyiwo.

Sien die hoofstuk Kopieer




Et 15:2

Volg ons:

Advertensies


Advertensies