Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Et 15:18 - Luganda Bible 2003

18 Leka kulowooza nti kizibu okumuteera ddala n'akuvaako, kubanga anaabanga akukoledde emyaka mukaaga, emirimu gya mirundi ebiri egy'omukozi akolera empeera. Bw'onookolanga bw'otyo, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'onookolanga.

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

18 Tokalubirirwanga kumusonyiyiranga ddala n'agenda, kubanga yakuweereza emyaka mukaaga emirundi ebiri, okusinga oyo aweererezza empeera.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

18 Tolowoozanga nti omukwatiddwa ekisa kubanga akuweerezza okumala emyaka mukaaga, nga buli mulimu gw’akola gwandikoleddwanga abaweereza ab’empeera babiri balamba. Era mu byonna by’onookolanga, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa.

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

18 Tolowoozanga nga kizibu bw'onoomuteeranga ddala okukuvaako; kubanga yakuweerereza emyaka mukaaga okusinga emirundi ebiri oyo aweerereza empeera: era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'okola.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

18 “Tokaluubirirwanga kumusiibula, kubanga singa ebadde mpeera ya kuwa mupakasi, eyiye olw'emyaka omukaaga gy'amaze ng'akuweereza, yandikubisizzaamu emirundi ebiri. Omukama Katonda wo agenda kukuwa omukisa mu mirimu gyo gyonna gy'okola.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

18 Leka kulowooza nti kizibu okumuteera ddala n'akuvaako, kubanga anaabanga akukoledde emyaka mukaaga, emirimu gya mirundi ebiri egy'omukozi akolera empeera. Bw'onookolanga bw'otyo, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'onookolanga.

Sien die hoofstuk Kopieer




Et 15:18

Volg ons:

Advertensies


Advertensies