Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Et 14:26 - Luganda Bible 2003

26 Ensimbi ezo munaazigulangamu kye munaabanga mwagadde: ente, oba endiga, oba omwenge ogw'emizabbibu, oba omwenge omuka, oba ekintu ekirala kyonna kye munaabanga mwegombye okulya. Ne muliira eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, ne musanyukira wamu n'ab'omu maka gammwe.

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

26 kale effeeza onoogigulangamu ekintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala, ente, oba ndiga, oba nvinnyo, oba ekitamiiza, oba ekintu kyonna emmeeme yo ky'eneekusabanga: era onooliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo, era onoosanyukanga ggwe n'ab'omu nnyumba yo:

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

26 Ensimbi ezo onoozeegulirangamu ekintu kyonna ky’onooyagalanga: gamba ente, oba endiga, oba envinnyo, oba ekyokunywa ekitamiiza, oba ekintu kyonna ky’onooyagalanga. Ggwe awamu n’ab’omu maka go bonna munaaliiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wo nga musanyuka.

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

26 kale effeeza onoogigulangamu ekintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala, ente, oba ndiga, oba nvinnyo, oba ekitamiiza, oba ekintu kyonna emmeeme yo ky'eneekusabanga: era onooliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo, era onoosanyukanga ggwe n'ab'omu nnyumba yo:

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

26 n'ozigulamu buli kyonna ky'oliba oyagadde, ng'ente, endiga, evviini, omwenge, leero kyonna omutima gwo kye guliba gusiimye. Ekyo ggwe n'ab'omu nnyumba yo mulikiriira eyo mu maaso g'Omukama Katonda wo, ne musanyuka.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

26 Ensimbi ezo munaazigulangamu kye munaabanga mwagadde: ente, oba endiga, oba omwenge ogw'emizabbibu, oba omwenge omuka, oba ekintu ekirala kyonna kye munaabanga mwegombye okulya. Ne muliira eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, ne musanyukira wamu n'ab'omu maka gammwe.

Sien die hoofstuk Kopieer

Et 14:26

Volg ons:

Advertensies

Advertensies