Et 14:21 - Luganda Bible 200321 “Temuulyenga ku kintu na kimu ekifudde ku bwakyo. Munaayinzanga okukiwa abagwira ababeera mu nsi yammwe ne bakirya, oba munaayinzanga okukiguza abagwira abalala. Naye mmwe muli ggwanga, Mukama Katonda wammwe lye yafuula erirye. Temuufumbirenga mwana gwa nsolo mu mata ga nnyina waagwo. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI21 Temulyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka; muyinza okukiwa bannamawanga abali mu bibuga byammwe bakirye oba okukibaguza; kubanga mmwe muli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wammwe. Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina gwayo. Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya21 Ekintu kyonna kye munaasanganga nga kimaze okufa, temukiryanga. Onooyinzanga okukiwanga munnaggwanga anaabeeranga mu bibuga byo ye n’akirya, oba onooyinzanga okukitunzanga munnaggwanga. Kubanga oli ggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo. Tofumbiranga kabuzi kato mu mata ga nnyina waako. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya21 Temulyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka: oyinza okukiwa munnaggwanga ali munda w'enzigi zo akirye; oba oyinza okukiguza munnaggwanga: kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina gwayo. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU21 “Temulyanga nnyama ya kalannamye. Oyinza okugiwa omugwira ali eyo mu bibuga byammwe, oba okugimuguza. Naye mmwe muli bantu ba Mukama Katonda wo abatukuvu. Tofumbanga kabuzi mu mata ga nnyina waako. Sien die hoofstukLuganda DC Bible 200321 “Temuulyenga ku kintu na kimu ekifudde ku bwakyo. Munaayinzanga okukiwa abagwira ababeera mu nsi yammwe ne bakirya, oba munaayinzanga okukiguza abagwira abalala. Naye mmwe muli ggwanga, Mukama Katonda wammwe lye yafuula erirye. Temuufumbirenga mwana gwa nsolo mu mata ga nnyina waagwo. Sien die hoofstuk |