Et 12:3 - Luganda Bible 20033 Mumenyanga alutaari zaabwe, ne mwasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja. Mwokyanga ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, era mutemaatemanga ebifaananyi ebyole ebya balubaale baabwe, ne bataddamu kusinzibwanga mu bifo ebyo. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI3 Munaamenyamenyanga ebyoto n'empagi zaabwe, era munaayokyanga n'ebifaananyi bya katonda waabwe Asera; munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; ne musangulira ddala amannya ga bakatonda abo, ne bataddamu ku sinzibwa mu bifo ebyo. Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya3 bannaggwanga be mugenda okutwalako ensi yaabwe gye basinziza; n’amayinja gaabwe mugaasaayasanga, n’empagi zaabwe eza Asera mulizimenyaamenya ne muzookya mu muliro; n’ebibajje ebya bakatonda baabwe mubitemaatemanga n’amannya gaabwe mu bifo ebyo ne mugasanguliramu ddala. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya3 era munaasuulanga ebyoto byabwe, era munaamenyaamenyanga empagi zaabwe, era munaayokyanga Abaasera baabwe n'omuliro; era munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; era mulizikiriza erinnya lyabwe mu kifo omwo. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU3 Mumenyangawo emyaliiro gyabwe, mwasaayasanga amayinja ge basimbye, empagi za Asera muzookyanga mu muliro, n'ebifaananyi bya balubaale bye basinza mubitemangawo, n'amannya gaabwe mugasangulangawo mu bifo ebyo. Sien die hoofstukLuganda DC Bible 20033 Mumenyanga alutaari zaabwe, ne mwasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja. Mwokyanga ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, era mutemaatemanga ebifaananyi ebyole ebya balubaale baabwe, ne bataddamu kusinzibwanga mu bifo ebyo. Sien die hoofstuk |