Et 12:20 - Luganda Bible 200320 “Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo z'ensi yammwe nga bwe yabasuubiza, buli lwe munaagambanga nti: ‘Tujja kulya nnyama’, kubanga gye mwagala okulya, munaalyanga nnyama nga bwe mwegomba. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI20 “Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo zammwe, nga bwe yabasuubiza, ne muyoya ennyama, munaagiryanga nga bwe munaayagalanga. Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya20 Mukama Katonda wo bw’aligaziya amatwale go, nga bwe yakusuubiza, n’oyoyanga okulya ku nnyama ng’ogamba nti, “Nandiyagadde okulya ku nnyama.” Kale, onoolyanga ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya20 Mukama Katonda wo bw'aligaziya ensalo yo, nga bwe yakusuubiza, naawe n'oyogera nti Naalya ennyama, kubanga emmeeme yo eyagala okulya ennyama; oyinza okulya ennyama, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kuli. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU20 “Omukama Katonda wo bw'aligaziya ebitundu byo, nga bwe yakusuubiza, n'ogamba nti: ‘Njagala kulya ku nnyama,’ ng'oyoyezza okulya ku nnyama, olyanga ennyama nga bw'oyagala. Sien die hoofstukLuganda DC Bible 200320 “Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo z'ensi yammwe nga bwe yabasuubiza, buli lwe munaagambanga nti: ‘Tujja kulya nnyama’, kubanga gye mwagala okulya, munaalyanga nnyama nga bwe mwegomba. Sien die hoofstuk |