Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Et 1:22 - Luganda Bible 2003

22 “Mwenna ne mujja gye ndi ne muŋŋamba nti: ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo bwe biri.’

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

22 “Mwenna ne mujja gye ndi ne mwogera nti, ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo nga bwe biri.’ ”

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

22 Awo mwenna ne mujja gye ndi, ne muŋŋamba nti, “Kirungi tutume abantu basooke okutuukako eyo gye tulaga, bakebere ensi bagyetegereze nga bw’eri; balyoke bakomewo batutegeeze ekkubo lye tusaanira okukwata, n’ebibuga bye tunaggukako.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

22 Ne munsemberera buli muntu ku mmwe, ne mwogera nti Tutume abantu abanaatukulembera, batukeberere ensi, bakomewo batubuulire ekkubo bwe liri lye tuba twambukiramu, n'ebibuga bwe biri mwe tulituuka.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

22 Mmwe mwenna mwansemberera ne muŋŋamba nti: ‘Tutume abasajja basookeyo gye tugenda, bekkaanye ensi, bajje batubuulire entambula bw'eneeba, batubuulire n'ebifa ku bibuga gye tugenda.’

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

22 “Mwenna ne mujja gye ndi ne muŋŋamba nti: ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo bwe biri.’

Sien die hoofstuk Kopieer




Et 1:22

Volg ons:

Advertensies


Advertensies