Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Abalam 8:10 - Luganda Bible 2003

10 Zeba ne Zalumunna baali mu Karukori n'eggye lyabwe. Ku ggye lyonna ery'abasajja b'ebuvanjuba, omutwalo gumu mu enkumi ttaano be baali basigaddewo. Abalwanyi emitwalo kkumi n'ebiri baali battiddwa.

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

10 Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli, n'eggye lyabwe eryafikkawo abasajja omutwalo gumu n'ekitundu (15,000), kubanga abalwanyi abalala emitwalo kkumi n'ebiri (120,000) baali bafudde.

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

10 Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli n’eggye lyabwe ery’abasajja ng’omutwalo gumu n’ekitundu, nga be bantu abaasigalawo ku ggye lyonna ery’abantu ab’obuvanjuba. Abasajja ng’emitwalo kkumi n’ebiri abaasowolanga ebitala be baali bafudde.

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

10 Era Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli, n'eggye lyabwe awamu nabo, abasajja nga kakumi mu enkumi ttaano, bonna abaafikkawo ku ggye lyonna ery'abaana b'ebuvanjuba: kubanga abasajja abaasowolanga ebitala baali bafudde kasiriivu mu obukumi bubiri.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

10 Zeba ne Zalumunna baali bawummuddeko mu Karukori n'eggye lyabwe lyonna, abasajja ng'omutwalo gumu mu enkumi ttaano, abaali basigaddewo ku ggye ly'abantu b'ebuvanjuba; abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri abakwasi b'ebitala baali battiddwa.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

10 Zeba ne Zalumunna baali mu Karukori n'eggye lyabwe. Ku ggye lyonna ery'abasajja b'ebuvanjuba, omutwalo gumu mu enkumi ttaano be baali basigaddewo. Abalwanyi emitwalo kkumi n'ebiri baali battiddwa.

Sien die hoofstuk Kopieer




Abalam 8:10

Volg ons:

Advertensies


Advertensies