Abalam 6:31 - Luganda Bible 200331 Kyokka Yowaasi bonna abaamulumba n'abagamba nti: “Mwagala okuworereza Baali? Oba mwagala kumulwanirira? Buli ayagala okumuwolereza wa kuttibwa nga tebunnakya nkya. Oba nga Baali lubaale, yeewolereze, kubanga alutaari emenyeddwa yiye.” Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI31 Yowaasi n'agamba bonna abaamulumba nti, “Mwagala kuwolereza Baali oba mwagala kumulwanirira? Ayagala okumuwolereza wakuttibwa nga bukyali bwankya; oba nga ye Katonda yeewolereze, kubanga bamenyeemenye ekyoto kye.” Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya31 Yowaasi n’addamu ekibinja ky’abantu abaali bamulumbye nti, “Mwagala kulwanirira Baali? Mwagala kuwagira bigendererwa bye? Omuntu yenna ayagala okumulwanirira wa kuttibwa nga obudde tebunakya; obanga ddala Baali ye Katonda, yerwanirire yekka, kubanga ekyoto kye kyamenyeddwamenyeddwa.” Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya31 Yowaasi n'agamba bonna abamuyimiridde mu maaso ge nti Mwagala okuwolereza Baali? oba mwagala okumulokola? ayagala okumuwolereza, bamutte nga (bukyali) bwa nkya: oba nga ye katonda, yeewolereze, kubanga bamenyeemenye ekyoto kye. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU31 Yowasi n'abaddamu bonna abaali bamwebunguludde nti: “Mwagala kulwanirira Baali? Mwagala kumuwonya? Anaalwanirira Baali we bunaakeerera anaaba attiddwa. Oba Baali lubaale, ajja kwerwanako nga waliwo amenya omwaliiro gwe.” Sien die hoofstukLuganda DC Bible 200331 Kyokka Yowaasi bonna abaamulumba n'abagamba nti: “Mwagala okuworereza Baali? Oba mwagala kumulwanirira? Buli ayagala okumuwolereza wa kuttibwa nga tebunnakya nkya. Oba nga Baali lubaale, yeewolereze, kubanga alutaari emenyeddwa yiye.” Sien die hoofstuk |