Abalam 6:13 - Luganda Bible 200313 Gidiyoni n'amugamba nti: “Mukama wange, oba Mukama ali wamu naffe, kale lwaki tutuukibwako ebyo byonna? Era ebyamagero bye yakolanga biri ludda wa, bajjajjaffe bye baatunyumizanga nti Mukama yabaggya mu Misiri? Naye kaakano Mukama atusudde era atuwaddeyo mu buyinza bwa Midiyaani.” Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI13 Gidyoni n'amugamba nti, “Mukama wange, oba Mukama ali wamu naffe, kale lwaki tutuukibwako bino byonna? Era eby'amagero byeyakolanga bajjajjaffe bwe batunyumizanga nti, ‘Mukama yabagya mu Misiri biri ludda wa?’ ” Naye kaakano Mukama atusudde, atugabudde mu mukono gwa Midiyaani. Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya13 Gidyoni n’abuuza nti, “Ayi Mukama wange, obanga Mukama ali wamu naffe, kale lwaki bino byonna bitutuuseeko? Eby’amagero eby’ekitalo bajjajjaffe bye baatubuulirako nti, ‘Mukama yatuggya mu Misiri, byo biruwa?’ Naye Kaakano Mukama Katonda atwabulidde era atuwaddeyo mu mikono gy’Abamidiyaani.” Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya13 Gidyoni n'amugamba nti Ai mukama wange, oba nga Mukama ali wamu naffe, kale ekitubeesezzaako ebyo byonna kiki? era ebikolwa bye byonna eby'ekitalo biri ludda wa bajjajjaffe bye baatubuulirako, nti Mukama teyatuggya mu Misiri? naye kaakano Mukama atusudde, atugabudde mu mukono gwa Midiyaani. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU13 Gidewoni n'amuddamu nti: “Naye, ssebo, oba Omukama ali naffe, lwaki bino byonna bitugwiridde? Ebyewuunyisa bye byonna biruwa bajjajjaffe bye baatunyumizaako, ne bagamba nti: ‘Omukama si ye yatuggya mu Misiri?’ Naye kati Omukama atwabulidde, atuwaddeyo mu mikono gy'Abamidiyaani.” Sien die hoofstukLuganda DC Bible 200313 Gidiyoni n'amugamba nti: “Mukama wange, oba Mukama ali wamu naffe, kale lwaki tutuukibwako ebyo byonna? Era ebyamagero bye yakolanga biri ludda wa, bajjajjaffe bye baatunyumizanga nti Mukama yabaggya mu Misiri? Naye kaakano Mukama atusudde era atuwaddeyo mu buyinza bwa Midiyaani.” Sien die hoofstuk |