Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Abalam 2:17 - Luganda Bible 2003

17 Naye Abayisirayeli ne batawuliriza bakulembeze baabwe. Ne bataba beesigwa eri Mukama, wabula ne basinza balubaale. Bajjajjaabwe baawuliranga ebiragiro bya Mukama, naye bano tebaakola bwe batyo.

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

17 Naye ne batawulira balamuzi baabwe, kubanga tebaali beesigwa, bagoberera bakatonda abalala, ne babavuunamira; ne baakyama mangu okuva mu kkubo bajjajjaabwe lye baatambulirangamu, nga bawulira ebiragiro bya Mukama; naye bo tebaakola bwe batyo.

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

17 Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya Mukama.

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

17 Naye ne batawulira balamuzi baabwe, kubanga baagenda nga bayenda nga bagoberera bakatonda abalala, ne babavuunamira; baakyama mangu okuva mu kkubo bajjajjaabwe lye baatambulirangamu, nga bawulira ebiragiro bya Mukama; bo tebaakola bwe batyo.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

17 Naye tebaawuliriza balamuzi baabwe, wabula ate badda mu kukola bwamalaaya ne balubaale n'okubavunnamira. Obuwulize eri ebiragiro by'Omukama bajjajjaabwe bwe baalaga, bo baabusuula mangu; tebaakola nga bajjajjaabwe.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

17 Naye Abayisirayeli ne batawuliriza bakulembeze baabwe. Ne bataba beesigwa eri Mukama, wabula ne basinza balubaale. Bajjajjaabwe baawuliranga ebiragiro bya Mukama, naye bano tebaakola bwe batyo.

Sien die hoofstuk Kopieer




Abalam 2:17

Volg ons:

Advertensies


Advertensies