Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Abalam 11:8 - Luganda Bible 2003

8 Abakulembeze mu Gileyaadi ne bagamba Yefuta nti: “Tukyukira gy'oli kaakano, kubanga twagala ogende naffe olwanyise Abammoni, era obe mukulembeze wa bantu bonna mu Gileyaadi.”

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

8 Abakadde ab'e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Kyetuvudde tujja gyoli, ogende naffe tulwanyise abaana ba Amoni, era oliba mufuzi w'abantu bonna mu Gireyaadi.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

8 Abakadde b’e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Tuzze gy’oli kaakano, ojje ogende naffe, olwanyise abaana ba Amoni, n’oluvannyuma onoobeera mukulembeze w’abo bonna ababeera mu Gireyaadi.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

8 Abakadde ab'e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti Kyetuvudde tukukyukira nate kaakano ogende naffe olwane n'abaana ba Amoni, naawe oliba mukulu waffe afuga bonna abatuula mu Gireyaadi.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

8 Abakadde b'omu Gileyaadi ne bagamba Yefuta nti: “Ekyo kye kituleese gy'oli; jjangu naffe olwanyise Abammoni; olifuuka mukulembeze waffe, n'abo bonna ab'omu Gileyaadi.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

8 Abakulembeze mu Gileyaadi ne bagamba Yefuta nti: “Tukyukira gy'oli kaakano, kubanga twagala ogende naffe olwanyise Abammoni, era obe mukulembeze wa bantu bonna mu Gileyaadi.”

Sien die hoofstuk Kopieer




Abalam 11:8

Volg ons:

Advertensies


Advertensies