Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Abalam 11:35 - Luganda Bible 2003

35 Yefuta bwe yamulaba, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agamba nti: “Zinsanze, muwala wange! Onnakuwazizza nnyo! Era ondeetedde okweraliikirira, kubanga neeyama obweyamo eri Mukama, siyinza kubumenyawo!”

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

35 Awo olwatuuka Yefusa bwe yalaba muwalawe, n'ayuzaayuza engoye ze, n'agamba nti, “Zinsanze muwala wange, onnakuwazizza era onneeraliikiriza nnyo! kubanga nneyama obweyamo eri Mukama siyinza kubumenyawo.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

35 Yefusa bwe yamulaba, n’ayuza engoye ze, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zinsaze muwala wange. Onnakuwazizza nnyo, era ondeetedde ennaku, kubanga neeyama eri Mukama Katonda, so siyinza kukimenyawo.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

35 Awo olwatuuka bwe yamulaba n'ayuzaayuza engoye ze n'ayogera nti Zinsanze, muwala wange! onnakuwazizza nnyo, naawe oli ku muwendo gw'abo abanneeraliikiriza: kubanga nayasama akamwa kange eri Mukama, so siyinza kuddirira.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

35 Bwe yamulaba, n'ayuza ebyambalo bye n'agamba nti: “O, Mwana wange onzise! Ondeetedde emitawaana! Naye nalagaanya Omukama, sikyayinza kukola bulala.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

35 Yefuta bwe yamulaba, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, n'agamba nti: “Zinsanze, muwala wange! Onnakuwazizza nnyo! Era ondeetedde okweraliikirira, kubanga neeyama obweyamo eri Mukama, siyinza kubumenyawo!”

Sien die hoofstuk Kopieer




Abalam 11:35

Volg ons:

Advertensies


Advertensies