Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Abalam 11:18 - Luganda Bible 2003

18 Awo ne balyoka bayita mu ddungu, ne beetooloola ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, ne batuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, ne basiisira emitala w'Omugga Arunoni. Naye tebaatuuka mu ttaka lya Mowaabu, kubanga Arunoni ye nsalo ya Mowaabu.

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

18 Isiraeri n'alyoka akwata ekkubo ery'omu ddungu ne yeetooloola. Ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, n'atuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, n'asiisira emitala w'omugga Alunoni; naye ne batatuuka mu nsalo ya Mowaabu, kubanga Alunoni gwali nsalo ya Mowaabu.

Sien die hoofstuk Kopieer

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

18 “ ‘Awo Isirayiri n’alyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu n’ensi ya Mowaabu, n’ayita ku luuyi olw’ebuvanjuba obw’ensi ya Mowaabu, ne basiisira emitala wa Alunoni ku nsalo ya Mowaabu.

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

18 Awo n'alyoka ayita mu ddungu ne yeetooloola ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, n'atuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, ne basiisira emitala wa Alunoni; naye ne batatuuka mu nsalo ya Mowaabu, kubanga Alunoni gwali nsalo ya Mowaabu.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

18 Yisirayeli n'ayita mu ddungu, n'abalaamiriza ensi ya Edomu n'ensi y'e Mowabu, n'ayitira ku ludda lw'ebuvanjuba obw'ensi y'e Mowabu, n'asiisira emitala wa Arunoni. Teyayingira mu nsi y'e Mowabu, kubanga Arunoni ye yali ensalo y'e Mowabu.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

18 Awo ne balyoka bayita mu ddungu, ne beetooloola ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, ne batuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, ne basiisira emitala w'Omugga Arunoni. Naye tebaatuuka mu ttaka lya Mowaabu, kubanga Arunoni ye nsalo ya Mowaabu.

Sien die hoofstuk Kopieer




Abalam 11:18

Volg ons:

Advertensies


Advertensies