Abaebbulaniya 1:3 - Luganda Bible 20033 Mu ye ekitiibwa kya Katonda mwe kirabikira, era mu ye mwe tulabira ddala Katonda nga bw'afaanana. Era ye awanirira ebintu byonna n'amaanyi g'ekigambo kye. Bwe yamala okusobozesa ebibi by'abantu okusonyiyibwa, n'atuula mu ggulu ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI3 Oyo alaga ekitiibwa kya Katonda era n'ekifaananyi kye ddala bw'ali, era abeezaawo buli kintu n'ekigambo eky'obuyinza bwe. Bwe yamala okukola eky'okunaaza ebibi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'Obukulu waggulu; Sien die hoofstukEndagaano Enkadde n’Endagaano Empya3 Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya3 oyo bw'ali okumasamasa kw'ekitiibwa kye n'ekifaananyi kye ddala bw'ali, era bw'asitula ebintu byonna n'ekigambo eky'obuyinza bwe, bwe yamala okukola eky'okunaaza ebibi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'Obukulu waggulu; Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU3 Ye kwe kutangalijja kw'ekitiibwa kya Katonda, ye nfaanana ye yennyini, awanirira obutonde bwonna n'amaanyi g'ekigambo kye. Bwe yamala abantu okubatukuzaako ebibi, n'atuula ku gwa ddyo gw'Oweekitiibwa ali waggulu, Sien die hoofstukLuganda DC Bible 20033 Mu ye ekitiibwa kya Katonda mwe kirabikira, era mu ye mwe tulabira ddala Katonda nga bw'afaanana. Era ye awanirira ebintu byonna n'amaanyi g'ekigambo kye. Bwe yamala okusobozesa ebibi by'abantu okusonyiyibwa, n'atuula mu ggulu ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza. Sien die hoofstuk |