Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Luusi 4:10 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

10 Era ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maloni, naye mututte okuba mukazi wange, okusobola okukuuma erinnya ly’omugenzi Erimereki n’ebintu bye, erinnya lye lireme okufiira awo ate n’okugibwa ne ligibwa mu bitabo bye byafaayo eby’ekibuga. Mmwe bajulirwa!”

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

10 Era Luusi Omumowaabu mukazi wa Maloni mmuguze okuba mukazi wange, okuzaawo erinnya lya bba eyafa n'obusika bwe bireme okuzikirira mu baganda be ne mu mulyango gw'ekifo kye; mmwe muli bajulirwa leero.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

10 Era Luusi Omumowaabu mukazi wa Maloni mmuguze okuba mukazi wange, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa, erinnya ly'oyo eyafa lireme okuzikirira mu baganda be ne mu mulyango gw'ekifo kye: mmwe muli bajulirwa leero.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

10 ne Ruusi Omumowabu, mukazi wa Makuloni, naye mmututte abeere mukazi wange, nsigazeewo erinnya ly'omufu n'obusika bwe busigalewo, erinnya lye lireme kuggweekerera mu baganda be ne mu kibuga kye. Kale nno mmwe bajulirwa b'ekigambo kino.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

10 Era Ruusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maaloni, mmuguze okuba mukazi wange, ebintu by'omufu oyo biryoke bisigale mu b'omu nnyumba ye, era ezzadde lye lireme kuzikirira mu baganda be ne mu kibuga kye. Mmwe bajulirwa leero.”

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda Bible 2003

10 Era Ruusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maaloni, mmuguze okuba mukazi wange, ebintu by'omufu oyo biryoke bisigale mu b'omu nnyumba ye, era ezzadde lye lireme kuzikirira mu baganda be ne mu kibuga kye. Mmwe bajulirwa leero.”

Sien die hoofstuk Kopieer




Luusi 4:10

Volg ons:

Advertensies


Advertensies