Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Et 9:12 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

12 Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Situka ove mangu wano oserengete, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye. Beekyusizza mangu ne bava mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu, ne beekolera ekibumbe ekisaanuuse ekitali Katonda.”

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

12 Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka ove wano, oserengete mangu; kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaananyi ekisaanuuse.’

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

12 Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ove wano oserengete mangu: kubanga abantu bo be waggya mu Misiri beeyoonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaananyi ekisaanuuse.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

12 Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Vva wano mangu okkirire, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri bakoze ekibi; bavudde mu kkubo lye nabalagira, bakoze ekifaananyi ekisaanuuse.’

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

12 “Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Situka ove wano, oserengete mangu, kubanga abantu bo be waggya e Misiri boonoonese ne bakola ekitasaana. Bakyuse mangu ne bava ku mpisa ze nabalagira okukwata. Balina bye basaanuusizza, ne beekoleramu ekifaananyi.’

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda Bible 2003

12 “Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Situka ove wano, oserengete mangu, kubanga abantu bo be waggya e Misiri boonoonese ne bakola ekitasaana. Bakyuse mangu ne bava ku mpisa ze nabalagira okukwata. Balina bye basaanuusizza, ne beekoleramu ekifaananyi.’

Sien die hoofstuk Kopieer




Et 9:12

Volg ons:

Advertensies


Advertensies