Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Et 7:5 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

5 Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro.

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

5 Naye munaabakolanga bwe muti: munaamenyamenyanga ebyoto byabwe, munaabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro.

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

5 Naye bwe muti bwe munaabakolanga; munaamenyaamenyanga ebyoto byabwe, munaabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

5 Wabula bino bye mubakolanga: emyaliiro gyabwe mugimenyangawo, amayinja ge baasimba mugaasaayasanga, empagi zaabwe eza Asera muzitemanga, n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale mubyokyanga.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

5 Naye mulibayisa bwe muti: mulimenyaamenya alutaari zaabwe, muliyasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja, era mulitemaatema ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, n'ebifaananyi byabwe ebyole, ne mu byokya omuliro,

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda Bible 2003

5 Naye mulibayisa bwe muti: mulimenyaamenya alutaari zaabwe, muliyasaayasa empagi za balubaale baabwe ez'amayinja, era mulitemaatema ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera, n'ebifaananyi byabwe ebyole, ne mu byokya omuliro,

Sien die hoofstuk Kopieer




Et 7:5

Volg ons:

Advertensies


Advertensies