Et 7:26 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya26 Toyingizanga mu nnyumba yo kintu kyonna ekyomuzizo, olemenga kuba mukolimire ng’ekintu ekyo bwe kiri. Onookikyayiranga ddala era onookitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI26 Toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo, naawe oleme kufuuka eyakolimirwa nga kyo, naye onokikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga kintu ekyakolimirwa. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya26 so toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo, naawe n'ofuuka ekyakolimirwa okufaanana nga kyo: onookikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga kintu ekyakolimirwa. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU26 Toleetanga ekyenyinyalwa mu nnyumba yo, sikulwa nga naawe, okufaanana nga byo, osalirwa okuzikirizibwa. Obyetamirwanga ddala era n'obyenyinyala, kubanga bino bisaliddwa okuzikirizibwa. Sien die hoofstukLuganda DC Bible 200326 Temuuleetenga kya muzizo na kimu mu mayumba gammwe, nammwe muleme kukolimirwa nga kyo. Mukikyayiranga ddala era mukitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa. Sien die hoofstukLuganda Bible 200326 Temuuleetenga kya muzizo na kimu mu mayumba gammwe, nammwe muleme kukolimirwa nga kyo. Mukikyayiranga ddala era mukitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa. Sien die hoofstuk |