Et 18:16 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya16 Kubanga ekyo kye wasaba Mukama Katonda wo ku lunaku olw’okukuŋŋaana ku lusozi Kolebu ng’ogamba nti, “Sisaanidde kuddayo nate kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wange wadde okuddayo okulaba omuliro guno omungi, nneme okufa.” Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI16 kubanga mwasaba Mukama Katonda wammwe ku lusozi Kolebu, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako nga mwogera nti, ‘Tuleme kuddayo kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe nate, wadde okuddamu okulaba omuliro guno omungi, tuleme okufa.’ Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya16 nga byonna bwe byali bye wasaba Mukama Katonda wo ku Kolebu ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako, ng'oyogera nti Nneme okuwulira nate eddoboozi lya Mukama Katonda wange, era nneme okulaba nate omuliro guno omungi, nneme okufa. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU16 Kino kye wasaba Omukama Katonda wo ku Korebu, ekibiina lwe kyakuŋŋaana, omale ogambe nti: ‘Mpa obutaddamu kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wange n'okulaba omuliro guno ogwaka guti, sikulwa nga nfa.’ Sien die hoofstukLuganda DC Bible 200316 nga bwe mwasaba Mukama Katonda wammwe lwe mwakuŋŋaanira ku lusozi Horebu, ne mugamba nti: ‘Tuleme kuddayo kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, wadde okuddamu okulaba omuliro guno omungi, sikulwa nga tufa.’ Sien die hoofstukLuganda Bible 200316 nga bwe mwasaba Mukama Katonda wammwe lwe mwakuŋŋaanira ku lusozi Horebu, ne mugamba nti: ‘Tuleme kuddayo kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, wadde okuddamu okulaba omuliro guno omungi, sikulwa nga tufa.’ Sien die hoofstuk |