Et 16:6 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya6 wabula onookiweerangayo mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye. Eyo gy’onooweerangayo Okuyitako akawungeezi ng’enjuba egwa, ng’ojjukiranga olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. Sien die hoofstukEKITABO EKITUKUVU BAIBULI6 naye munnazittiranga mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza akawungeezi, enjuba ng'egwa, nga bwe kyali nga muva e Misiri. Sien die hoofstukEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya6 naye mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, eyo gy'onottiranga Okuyitako akawungeezi, enjuba ng'egwa, mu biro bye waviiramu mu Misiri. Sien die hoofstukBIBULIYA ENTUKUVU6 wabula mu kifo kyokka Omukama Katonda wo ky'aliba alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye. Eyo gy'otambiriranga Pasika akawungeezi enjuba ng'egwa, ku lunaku lw'ojjuukirirako okuva kwo mu Misiri. Sien die hoofstukLuganda DC Bible 20036 Naye munaakiweerangayo mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Eyo gye munaakiweerangayo akawungeezi, ng'enjuba egwa, mu kiseera nga kye mwaviiramu mu Misiri. Sien die hoofstukLuganda Bible 20036 Naye munaakiweerangayo mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. Eyo gye munaakiweerangayo akawungeezi, ng'enjuba egwa, mu kiseera nga kye mwaviiramu mu Misiri. Sien die hoofstuk |