Aanlyn Bybel

- Advertensies -




Et 15:9 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

9 Weekuumenga nnyo olemenga kubeeranga na ndowooza eno embi mu mutima gwo nti, “Omwaka ogw’omusanvu ogw’okusonyiwa amabanja gusembedde,” muganda wo n’omukwatirwa ettima n’otobaako ky’omuwa. Muganda wo ayinza okujulira eri Mukama n’osangibwanga ng’ogudde mu kibi.

Sien die hoofstuk Kopieer

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

9 Weegendereze walemenga okubaawo obukodo mu mutima gwo, ng'oyogera nti omwaka ogw'omusanvu, gw'osonyiriramu gunaatera okutuuka, n'ogaana okuyamba muganda wo omwavu, naye n'akoowoola Mukama ng'akuwaabira, ne kiba kibi gy'oli.

Sien die hoofstuk Kopieer

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

9 Weekuumenga waleme okubaawo mu mutima gwo ekirowoozo ekikodo, ng'oyogera nti Omwaka ogw'omusanvu, omwaka ogusumululirwamu, gunaatera okutuuka; eriiso lyo ne liba bbi eri muganda wo omwavu, n'otomuwa kintu; n'akoowoola Mukama ng'akuwawaabira, ne kiba kibi gy'oli.

Sien die hoofstuk Kopieer

BIBULIYA ENTUKUVU

9 Wekkaanye, ekirowoozo ekibi tekikujjanga mu mutima n'ogamba nti: ‘Anti omwaka ogwomusanvu ogw'ekisonyiwo ky'amabanja gunaatera okutuuka,’ olwo n'otunuuliza muganda wo omwavu eriiso ebbi, nga toyagala kumwazika ky'asabye; yandireekaana eri Omukama olw'okubeera ggwe n'obaako omusango.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda DC Bible 2003

9 Temuugaanenga kumuwola nga mwekwasa nti omwaka ogw'omusanvu ogw'okusonyiyiramu amabanja gunaatera okutuuka. Temukkirizenga ndowooza eyo embi kuyingira mu mitima gyammwe. Bwe munaagaananga okumuwola, n'amala akoowoola Mukama ng'abawawaabira, munaavuunaanibwanga ekibi ekyo.

Sien die hoofstuk Kopieer

Luganda Bible 2003

9 Temuugaanenga kumuwola nga mwekwasa nti omwaka ogw'omusanvu ogw'okusonyiyiramu amabanja gunaatera okutuuka. Temukkirizenga ndowooza eyo embi kuyingira mu mitima gyammwe. Bwe munaagaananga okumuwola, n'amala akoowoola Mukama ng'abawawaabira, munaavuunaanibwanga ekibi ekyo.

Sien die hoofstuk Kopieer




Et 15:9

Volg ons:

Advertensies


Advertensies